Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Eyawangudde kaadi ya NRM okuvuganya ku kifo ky’obubaka mu Masaka City Justine Nammere alabudde Full Figure gwe baakubye ne bamwogoloza ku wikendi yeewale obuteeka mu bizibubye.
Agambye nti wadde Full Figure ng’amanyage amatuufu ye Jennifer Namutebi Nakangubi amwesibako nti ye yamukubye ye talina kabimanyiko.
Yagambye nti Full Figure abakubye kirabika tabamanyi nti kubanga yakyusa siteetimenti ku byomukuba emirundi esatu nti amugye ne bba Kennedy Nsubuga mu buntu ebyo tamuzungirako.
Kyokka siteetimenti ya Full Figure erumiriza nti Nammere ne Nsubuga beebamukubye.
Nammere agambye nti Full Figure alina entalo n’abalabe bangi bazze awemula n’okuvuma nti omwo mwandiba nga mwemwavudde abamuwuttudde.
Yayongeddeko nti waliwo n’abawabira Full Figure ku poliisi e Katwe kyokka poliisi n’emuzibikiriza n’okubalemesa nti abanoonyereza naawo banditunuddewo.
Yakkiriza nti poliisi emuyise nga Nammere era yeetegese okugendayo yeewozeeko ku biogerwako byatamanyi.
Akatambi akafulumye ku wikendi kalaze abasajja babiri nga bafuntula Full Figure n’okukusamba .