News

OMWALA GW’E NAKIVUBO; Omugagga Ham, KCCA, NEMA Ne Gavumenti Babatutte Mu Kkooti

Published

on

Bya Muwandiisi Waffe

KAMPALA

Mukuseera kino ng’okuzimba amadduuka ku muwala gw’e Nakivubo nga Omugagga Ham Kiggundu bwe yalangiridde kugenda mu maaso, bannamateelka babiri bagenze mu kkooti bino byonna biyimirire.

Bagambye nti Ham Kiggundu ettaka lino yalifunye mu bumenyi bw’amateeka nga yeekwasa ebbaluwa erimuwa okuva ewa Pulezidenti Museveni naye gwe bawaabidde nga bayita mu ssaabawolereza was Gavumenti.

Abalala abawabiddwa ky’e kitongole Kya KCCA ne NEMA olwokutunula obutunuzi nga Ham Kiggundu azimba ku mwala nga talina lukusa Lwa NEMA.

Looya Samuel Oola ne munne Naafi Kazinda beebalemeddeko nga baagala kkooti bano ebankugire.

Bino byonna bidiridde Ham Kiggundu okukwatagana ne Pulezidenti Museveni namusomera ddiiru eyokunyiriza ekibuga ng’azimba amadduuka ku mwala gwe Nakivubo n’okuguzimba nga gwa mulembe.

Pulaani Eno Museveni yagikkiriza mu bbaluwa era Ham yatandikuddewo okuzimba.

Kyokka waliwo okumuwakanya okwamaanyi okuva mu Bannakampala abamu okuli Loodi Meeya wa Kampala, Ssalongo Erias Lukwago, abamu ku bannabyabufuzi n’abantu nga Frank Gashumba omukubaganya w’ebirowoozo ku leediyo, ttivi ne sosomidiya.

Ono agamba nti wadde Ham Kiggundu kyagenda okukula kirungi naye omuwala ogwo oguweza yiika eziwera mu Kampala wakati OMUNTU Omu azifuna atya ku bwereere?

” Lino ettaka lya Bannayuganda bonna era ne Lukwago yeemu ku nsonga gyagamba” Gashumba bwe yagambye ngali ku Radio 4.

Abalala basonga ku kugyawo omwala oba okugukosa ekiyinza okwongera amazzi aganjaala mu biseera by’enkuba.

Wano balooya webavirlddeyo ne bawaaba omusango.

Wabula ku mwala ogwogerwako okuzimba kutambula kiro namisana era omwala ekitundu ekinene kitandise okubikibwa amadduuka gazimbibwe waggulu.

Trending News

Exit mobile version