Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Byonna omubaka Theodore Ssekikubo bye yaloopye mu kkooti ya NRM omuli okukyusa obululu,effujjo ekambwe, kibooko mu kamyufu n’okutiisa abalonzibe n’emmundu tebabirabyemu poyinti.
Balangiridde nti munnamagye omukambwe Brig Gen Emmanuel Rwashande yeyangula akamyufu ka NRM.
Kino kyanyizizza Hon Ssekikubo. eyagambye nti takkiriza nsalawo ya kkooti ya NRM era agenda kulangirira ekiddako.
Ekibi kkooti ya NRM eno eyatekeddwawo okulamula enkayaana z’skamyufu ka NRM teriiko kujulira endala yaayo yankomeredde.
Kyokka abamu ku bawagixi ba Ssekikubo baategeezezza nti omuntu wabwe bagala yeesimbewo ku bwanamunigina zidde okunywa.
Kyokka okubaawo kwa kino kuyinza obutayamba Hon Ssekikubo amaze ebisanja ebisoba mu bisatu mu palamenti kubanga Gen Emmanuel Rwashande simwangu.
Amaanyi n’obukodyo byeyakozesezza okuwangula akamyufu byagenda okukozesa okuwangula alalulu.
Nekyokuba nti Lwemuyaga wa NRM kyongera enkizo eyawangudde akamyufu emikisa okuwangula alalulu oba atya oba atya.
Kyokka abamu ku baabadde mu kamyufu baategeezezza nti kyayotiridde ngemiggo ginyooka era enkoni ezagyira mu mmotoma za kabangali ezaali zifanagana zasuubulwa busubulwa.
Bano bagambye nti waliwo akabinja kabaaya abagyako netiwaaka mu bitundu Hon Ssekikubo gye yalina obuwagizi nga tebakyasobola kuwuliziganya bokka na bokka.
Okusooka Ssekikubo ne munne Hon Kabatsi Joy Kafula baabadde baategeezezza nti ebyava mu kulonda byakyusibwa, efujjo lyali lingi ne kazambi omulala.
Hon Ssekikubo yabadde asabye Rwashande obueanguzibwe busazibwemu balangiriremu ye.
Kyokka kkooti ya NRM yagambye nti kino tekisoboka nti bwomala okutegeeza nti akavuyo kaasukka ate toyinza kuliira mu kavuyo keekamu
Ekirala Hon Ssekikubo ne munne baabuliddwa obujulizi obumatiza kkooti n’egoba okusaba kwabwe.
Mu byava mu kamyufu Brig Gen Emmanuel Rwashande uafuna 16,356, Ssekikubo nafuna 8,702, Edmond Mwire nafuna 960, Kabatsi nafuna 473 ate Jacob Kato n’sbuukayo na 11 bwokka.