Connect with us

News

Olutalo Lwa Kadaga ne Anita ; Begyiddeyo Enjala M7 N’asoberwa

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Minisita. Rebecca Kadaga ne sipiika Annet Anita Among beeyisizasmu eggaali mu.maaso ga Pulezidenti Museveni mu lukiiko lwa NRM ne zidda okunywa.

Kadaga yagambye nti Among amutambulirako ate kirabika ne NRM oba Pulezidenti Museveni tafuddeyo kumutaasa n’alabula nti olutalo Ku ye lubeera lutalo ku Busoga yonna.

Yabuuzizza lwaki Among etanaweza myaka mingi.mu NRM gwe baagala okutiitiibya basadaake ye akadiyidde mu NRM . Wano weyategeerezza nti tajja kulekera Among bagende mu kalulu zaabike emipiira.

Ne Among naye yagaanye okunyigirwa mu nnoga n’agamba nti wadde mupya mu NRM okuva lwe yava mu FDC tabasaze aleese absbaka 10 ate akyasomba ne palementi agikwata bulungi terumya jjajja mutwe.

Yalangiddd Kadaga nti yeeyita owa NRM kyokka simuwulize eri ekibiina kye yensonga lwaki ne bwebamugaana Okuvuganya omugenzi Jacob Oulanyah yeesowolayo ku bwanamunigina.

Baabadde mu lukungaana lwa NRM e Kololo gye balondera obukulembeze bwabwe obw’okuntilkko

Yagambye nti nga bwe bakuuma ekifo ky’omumyuka wa ssentebe Hajj Moses Kigongo olw’okuba siniya naye tebandimuseseetudde.

” Sipiika atuula ku lukiiko lwa CEC kati Among kitegeeza ayagala kukola ebifo bibiri omulundi him?

Eno Olwo.Museveni yabadde amaze okutegeeza nti nga bwebagaanye okwerondako omu akalulu’ kekagenda okubawula.

Kadaga ye mumyuka wa ssabaminisita asooka era minisita w’amawanga ag’obuvanjuba

Bano bombi balina abawagizi era kitadde NRM mu kaseera akatali kangu Ne pulezidenti yagambye nti tayinza kubalagira

Wabula yagambye nti sikituufu nti Kadaga alwanyisibwa era sikituufu nti okukwata ku Kadaga kubeera kutabangula Busoga kubanga ye ssaabalwanyi yeeyalwanirira Busoga okuva ku Amin.