Bya Angel Lubowa
KAMPALA
OLUTALO lw’ebibiina ekya NRM ekikulirwa Pulezidenti Yoweri Museveni n’ekya NUP ekikulirwa Robert Kyaggulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine mu kalulu ka 2026 lutandikira mu kibuga wakati.
Aba NUP bategeezezza nti Bobi Wine okumala okwewandisa nga 23/09/2025 agenda kukuba enkungaana e Katwe mu divizoni y’e Makindye ne Nateete mu divizoni y’e Lubaga ate nga Pulezidenti Museveni naye ayeewandisa ku lunaku lwelumu enteekateeka eyiye agitadde ku kisaawe e Kololo.
Mu bbaluwa eyawandikiddwa ssabawandiisi wa NUP, Davis Rubongoya eri ssaabadduumizi wa poliisi yagambye nti olukungaana olusooka luli ku kisaawe e Katwe ku ssaawa 6 okutuusa ku ssaawa 10 ate olulala balukube ku kisaawe Kya Kaala e Nateete wakati was ssawa 10 n’eddika 30 ne 12.
Yasabye poliisi ekitegeereko nti ekirungi enkungaana zabwe za mirembe.
Kyokka ne Pulezidenti Museveni naye wakwewandiisa ku lunaku lwelumu. Bombi ne bannabwe abalala bakwewandisiza ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda ekipya e Kajjansi.
Pulezidenti Museveni naye alina olukungaana olw’amaanyi e Kololo oluva mu kwewandiisa. Akakiiko k’ebyokulonda kataddewo ennaku bbiri September 23 ne 24 okuwandiika abagemda okwesimbawo ku bwa Pulezidenti. Abantu abasoba mu 28 bebalowoozebwa okuba nga bagyeyo empapula n’okutuukiriza ebisanyizo.