Bya Angel Lubowa
Kampala
Ababbi abagambibwa okukolagana n’abakuumi beesomye okubba mu Akeedi z’omu Kampala era abamu ku basuubuzi banenyezza abagagga obutafaayo.
Obubbi bwasoose ku MM Plaza ku Luwum street ey’omugagga Manisur Matovu Young wiki ewedde ng’eno amadduuka mukaaga okuli n’eryomuyindi eritunda eby’okwewunda ganyagiddwa.
Kyokka Matovu ennaku ezadiridde yasindise basajjabe kubanja n’okusibawo abaabadde tebanasasula eby’okwerinda ebidobonkanye teyabitutte nga nsonga.
Omuwandiisi bwe yamukubidde essimu teyagikutte ate muwalawe Aidah Young yawuliriza n’oluvanyuma essimu nagituga.
Are ku Ssande ekiro era ku Luwum street ku GBK Plaza amadduuka 16 omuli n’ekibanda kya ssente byabiddwa ssente ezisoba mu bukadde 123 ne zibibwa.
Omukuumi Bosco Gahungu 50 ,amazeewo emyaka 15 ng’akuuma yagambibwa okukwatagana nababbi era yadduse.
Poliisi ya CPS yeekwasaganya okunoonyereza.
Kkamera ziraga nga Gahungu ali n’ababbi basatu beetala ate endala zaasaliddwako. Bayingiridde mu mulyango ogwenjawulo ku mwaliiro ogusooka.
Akulira securite ku GBK,Peter Katongole yagambye nti babadde bamwesiga olw’ebbanga lyakoze nga tebamuteberezaamu ate kubeefuulira.
Mu kiseera kye kimu poliisi y’e Kampalamukadde eyigga abazigu ababbye e Lubya ku wikendi ku muddumu gw’emmundu.
Baabadde basatu ku pikipiki era baatutte akakadde kamu nemitwalo 87 okuva ku Premier Bet ewasibibwa emipiira oluvanyuma lw’okufunza omukuumi atabadde nammundu.