Bya Angel Lubowa
Nairobi
Bannakenya bali mu kiyongobero oluvanyuma lwa munnabyabufuzi abadde asinga amaanyi e Kenya, Raila Odinga okufa ekibwatukira.
Odinga 80, ng’ono yaliko Ssabaminisita n’ebifo ebirala mu gavumenti ez’enjawulo yafiiridde Buyindi ku Lwokusatu kumakya.
Yafiiridde mu ddwaliro lya Ayurvedic eye hospital erisangibwa e Koothattukulam mu disitulikiti y’e Ernakulam mu Buyindi.
Eno abadde amazeeyo ennaku nga mukaaga nga mulwadde kyokka omutima gwamwesibye bwe yabadde atambulatambulako eggulo kumakya ne bamuyoolayoola kyokka abasawo ne bategeeza nti yabadde afudde.
Omwogezi w’eddwaliro lino, Dr Ramesh Pillai yategeezezza nti ,” ku ssaawa nga 3:00 ez’okumakya Odinga omutima gumwesibye bwabadde atambulatambuka ku mbuga y’eddwaliro lyaffe ng’ali ne muwalawe kyokka aleteddwa mangu mu kifo ewajanjabirwa wabula tugenze okumwekebejja ng’afudde”.
Amawulire g’okufa afakanze Bannakenya gaasaasaanye mangu wonna mu nsi era obubaka obukubagiza bwabadde buyiika nga mazzi.
Odinga okugenda mu ddwaliro lino yabadde agenze kujanjabwa ndwadde z’abakadde asobole okubeera katebule.
Abadde munnabyabufuzi mugundiivu Kenya gwe yeewulira era nga bwewabaawo embeera enzibu asobola ogitereeza.
Yeesimbyewo enfunda ttaano ewali ne wekigambibwa nti yali awangudde kyokka Uhuru Kenyatta akalulu nakakwatamu .
Atabadde ebibiina n’okukola emikago wabula abadde takuuma bus unguarded ekimuyambye okuzzanya eby’obufuzi ebyekikulu nga nokwekalakaasa kwabavubuka e Kenya abamanyiddwa nga Gen Z abaabadde basuula gavumenti ya Dr William Ruto yeeyakukanyizza.
Abadde musajja Mujaluwo era okufananako ne kitaawe omugenzi Jalamogi Odinga obufuzi bumuyise mu myagaanya gya njalo.
Waliwo ebigambibwa nti abadde wakuvuganya mu 2027 wakiri afugeko ekisanja kimu nga tanafa ekitasobose.
Odinga mugagga fugge era mu Bannakenya 29 agasooka tabulamu.