Connect with us

Politics

MUKASA MBIDDE; Kampala Ne Masaka Bimulemye, Addukidde Bunyoro!

Published

on

Bya Muwandiisi Waffe

KAMPALA

Omumyuka was ssenkaggale was DP, Fred Mukasa Mbidde ng’ono yaliko Omubaka mu palamenti ya EALA abalonzi b’e Kampala ne Masaka bwe baamuganye kati addukidde Bunyoro.

Mbidde atutte ekisera nga yeesimbawo ku kifo ky’obubaka mu palamenti kyokka nga bamukuba n’enkoona n’enywa.

Yasooka Kwesimbawo e Makindye West mu 2006 kyokka ne bamuwangula.

Bwe yalaba ab’e Makindye bagaanye okumumatira kwekugenda e Masaka gye bamuzaala mu 2007 n’avuganya mu kalulu

k’ okuddamu e Kalungu East kyokka ne bamuwangula.

Mu 2011 yaddamu okuvuganya e Kalungu East kyokka ne bamukuba akalulu.

Mu 2021 yazeemu okuvuganya mu konsitituwensi ya Nyendo_ Mukungwe wabula era ne bamulya.

Wabula wiiki ewedde Mbidde yagambye nti kati agenda Kwesimbawo mu ssaza ky’e Buwekula.

Bino yabitwgeezezza bwe yabadde ayabadde ku mukolo gw’okwebaza Katonda olw’obulamu bwanawadde naddala mu buwereza.

Yabadde mu makage agasangibwa ku kyalo Bugoondo mu ggombolola y’e Butoologo mu dusitulikiti ye Mubende.

Yagambye nti ebyakalulu n’olwokaano yali yabivaako nti kyokka abalonzi ne bamusaba yeesimbawo abataase ku babbi b’ettaka.

Mbidde abadde amanyiddwa okuwangaalira e Masaka ne Kampala wabula yalya ekibanja e Bunyoro nga kati gyagenda okwesimbirawo.

Wadde ng’abadde Omubaka w’ekitundu kino Patrick Mbabazzi tagenda kudda waliwo abantu abalala bana omuli aba NUP ne NRM bagenda okutunka nabo.