News

MMENGO, GASHUMBA BALAJANYE KU DR BESIGYE

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Obwakabaka bwa Buganda busabye eby’okuwozesa Dr Kizza Besigye ali mu nkomyo e Luzira biyisibwe mu bwangu nti kubanga okukandaaliriza mu byamateeka kitegeeza kumma muntu bw’enkanya.

Bino byategeezeddwa Katikkiro wa Buganda , Charles Peter Mayiga bwe yabadde asisinkanye ekibinja ky’abavubuka okuva mu kibiina Kya PFF ku Lwokusatu.

Bano baagenyiwaddeko e Mmengo okukubaganya ebirowoozo ku butya abavubuka bwe bateekeddwa okwenyigira mu kuzimba eggwanga ne Buganda.

Aba PFF bano bagambye nti beesanze nga ssemateeka wabwe okwatagana bulungi n’emiramwa Buganda gyetambulirako.naddala ensonga za Buganda ssemasonga.

Mu kwogerakwe Mayiga yasabye Dr Besigye avundirs mu kkomera ne munne Hajj Odeid Lutale bawilozesebwe mu bwangu baleme kulabika nga abayigsnyizibwa .

Yasabye n’akakiiko k’ebyokulonda akali mu kutegeka akalulu okukozesa obwenkanya kiyambe okulonda okugenda obulungi.

Ekibiina Kya PFF kirudde nga kirwanirira eby’,ekuyimbula Dr Besigye ne munne Lutale bwe baakwatibwa e Kenya omwaka oguwedde.

Ate omukubaganya w’enirowoozo ebizimba ku Leediyo, ttivi n’emikutu gya sosomidiya emirala era omusuubuzi Frank Gashumba asabye Pulezidenti Museveni n’abalala sbakwatibwako okuyimbula dry Besigye wakiiri awoze ngava wakawe.

Gashumba yagambye nti mukiseera kino Dr Besigye mulwadde nyo mu kkomera gyali e Luzira nasaba wakiri yeeyimitirirwe.

Yabadde ayogera ku pulogulaamu ye “Entugga” rbeera ku Radio 4 buli Mmande ya wiiki.

Trending News

Exit mobile version