Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Bannayuganda abamu olwalabye minisita Nobert Mao ssenkaggale wa DP nganonye empapula zokwewandisa okuvuganya Ku bwa pulezidenti ne basakaanya nti yabadde anobye mu bufumbo bwa pulezidenti Museveni.
Mao wadde yakulira DP kyokka alina enkolagana ey’enjawulo ne NRM ekyamuweesa obwa minisita bw’ebyamateeka.
Kyokka bannakibiina abamu kino baakivumirira nga bagamba nti ekibiina yakiryamu ssente era nti yeefumbiza ewa Museveni mu NRM.
Kati bwe yagyeyo empapula mu kakiiko k’ebyokulonda abamu be bagamba not anobyeyo.
Kyokka abalala bagambye nti kaabadde kabadi ng’ayagala Pulezidenti Museveni ne NRM bongere okumwogereza batuukirize nebirala ebiri mu ndagaano gye baakola omuli n’okuwa abekinywikye ekirala obwa minisita.
Empapula za Mao zaamunoneddwa ssaabawandisi wa DP, Gerald Sirand eyawerekeddwako bannakibiina abalala.
Kyokka Mao azze agamba nti tavanga mu DP wadde okugitunda mu NRM nti enkolagana yabwr yabulungi bwa ggwanga.
Mukiseera kye kimu aba NUP abakulbeddwamu ssaabawandisi w’ekibiina Lewis Rubongoya ne LOP , Joel Ssenyonyi nabo baalabiseeko mu kakiiko k’ebyokulonda okugyayo empapula mukama wabwe Hon Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine kwagenda okuvuganyiza mu kulonda okwengedde.okwa 2026.
Abantu. 140 n’omusobyo bebakagyayo empapula okuvuganya Ku bwa pulezidenti.
Kyokka kigambibwa nti abasinga mu bano bakazanyorizi, abalala bagala kukola manya ate abalala balina kye babaza era bangi emitendera omuli n’okukungaanya emikono gy’abalonzi wakiri mu disitulikiti 98. Uganda Erina disitulikiti 135.