Bya Angel Lubowa
KAMPALA
“Kampala tewali ttaka lya bwereere, twagala ebibaati byeyakubyeko bigyibweko mangu”
Bwatyo Loodi Meeya wa Kampala, Ssalongo Erias Lukwago bwe yalinye mu kyotto eggulo ng’awakanya ekya KCCA okukkiriza onugagga Hamis Kiggundu okuzimba ku mwala gw’e Nakivubo.
Kyadiridde KCCA okumuwa omwala guno naye natagulwisa nafuna securite ekiro mu wikendi nagikubako ebibaati okuva ewa Kisekka okutuuka ku poliisi ezikiriza omuliro.
Hamis amanyiddwa nga Ham nga yennanyini Ham Business Centre eyazimb amadduuka nfofoolo ku ttaka eryali ery’ekisaawe ky’e Nakivubo yagambye nti n’omwala agenda kuguzimbako amadduuka ag’omulembe.
Bbo ababadde balembekera awo beekalakaasizza nga babuuza nti ” omunaku agenda kulyawa?”.
Lukwago yagambye nti ensonga bazitutte wa Kaliusoliiso ayimirize Ham mu bwangu n’ekibaati kigyibweko.

Lord Mayor Arias Lukwago
Yagambye nti kino kivandulo okumala gagaba ttaka lya Banakampala, okutataaganya obutonde bw’ensi n’obutagoberera mitendera kye batayinza kukkiriza.