Bya Angel Lubowa
MAKINDYE
Kabbwa kabbi kagumya mugongo naye n’abasajja Abafere 7 okuli Bannayuganda n’Abacongo abagambibwa okunyaga omugagga w’e Nigeria Doola za Amerika 70,000 nga bamuguza Zaabu omufu kkooti ebasindise ku limandi.
Kkooti ento.e Makindye yabavunaanye okugatta gatta ebyobugagga ebyomutaka ebitali bimu ne bakokamu ekirungi kye baayise Zaabu ne bakozesa okunyaga, okusanuusa ebyobugagga bino nga tebalina lukusa , okufuna ssente mu lukujjukujju n’,okwekobaana bazze emisango.
Bano okwabadde Paluku Kisasi( Mucongo),eyeeyise nanyini Zaabu mu Diiru eno,Safari Akonkwa (Mucongo) eyeefudde omukozo mu kkampuni ya Legacy Refinery Company mwebamunyagidde, Isaac Mpende (Mucongo)Congolne Abdul Madjid Kahirima nga Munnayuganda ne
Mabwongo Prince (Mucongo) gattako Kajjubi Tevin Kyome (Munnayuganda) nga yeeyise mukozi mu kkampuni endala eya Emerod Co. Ltd ne mukyala Tibasiima Barbra oluusi ayeeyita Katushabe Sharon –(Munnayuganda) beebasindikiddwa ku limanda oluvanyuma lwokwegaana emisango gino.

Abamu ku Bavunanizibwa
Kigambibwa nti Wakati wa July ne August 2025,bano badyekafyeka Omunigeria , Mark Gbillah ne banugyako emitwalo gya Doola 7 nga bamuguza kilogulaamu za Zaabu 5 kyokka nga byali bifu .
Ono yaddukira mu kitongole ekirwanyisa enguzi n’o ku nyaga Bamudigansimbi n kikolagana n’ebitongole
ebirala ne bibayoola.
Baakudda mu kkooti nga August 25, omwaka guno.