Bya Musasi Waffe
Kampala
Munnamagye eyagawumudde gye buvuddeko Genero Ivan Koleta kati aliisa buti.
Jjajja w’eggwanga era Pulezidenti, Gen Kaguta Museveni amuwadde ogufo nga kati ye ssentebe w’olukiiko olufizi olwa Uganda industrial research institute (UIRI).
Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde omukulu oni ” masulubbu” lw’e yalayixiddwa ku bukulu buno era ye ne banne baakulira emirimu baagitandikiddewo.
Abalala bwe baslondeddwa ye Mukyala Jolly Kamugisha Kaguhangire, Dr Catherine Wandera, Mukyala Magdalene Akite ne Dr Joshua Mutambi.
Bano wenagyidde nga UIRI egambibwa okubaamu vvulugu kyokka Koleta asuubirwa okugizza engulu.
Minisita w’eggwanga ow’ebyobusuubuzi David Bahati yasabye olukiiko olupya okukola ekirusubirwamu n’obuvumu.