Bya Angel Lubowa
GULU
AKULIRA ekitingole ekitumbula obulumi n’obulunzi n’ebyenfuna ekya operation wealth creation, Gen Salim Saleh alagidde ababaka ba Uganda mu mawanga amalala obutakoma ku kuyimbirira byabufuzi byokka wabula badskire eggwanga.
Agambye nti ababaka bebetaaga kati beebo abasobola okufumitiriza ne bazuula butya amawsnga gyebakolera bwe gasobola okutabagana ne Uganda mu bulimi, obulunzi , ensubulagana n’,okutumbula tekinologiya.
Yagambye nti kino kyakuyamba okutumbula eby’enfuna kubanga wadde gavumenti efuba okuzimba n’okusikiriza abaamakolero, esigala nsi ya byabTemulina
” Temulina kukoma kubeera babaka bsbyabufuzi kyokka ekyo. Nedda munoonye engeri omuntu wawansi gyafunamu mukubeera kwamwe eyo gyumuli. Bwosanga tekinologiya agasa omulimi oba omulunzi teekawo embeera ekwataganya abantu baffe nabeeyo gyoli. Bwebuberra BUtulakita obutono oba ekintu kyonna kisake ng’ogatta abeeyo ku beeno” bwe yagambye.
Bino Gen Saleh ng’amanyage amatuufu ye Gen Caleb Skandwanaho yabyogeredde mu lukungaana lw’ababaka ba uganda’ mu mawanga amalala olwa buli.mwaka olwatandise ku Gulu university eggulo ki Mmande. Lwakumala wiiki nnamba.
Lwakutambulira ku mulamwa gw’okukozesa ababaka b’,amawanga okutumbula eby’enfuna.
Abalala abalwogereddemu ye minisita w’ensonga z’ebweru Gen Jejjr Odongo eyatendereza ababaka kukutumbula enkolagana n’amawanga amalala mu by’enfuna ,ne minisita w’eggwanga ow’amawanga amalala,, Okello Oryem yabeebazizza okukolera mu bugubi mu bitundu ebimu.
Okusooka omusandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule ey’ensonga z’ebweru, Vincent Bagiire yagambye nti ababaka bakoze okutuukiriza enigendererwa bya uganda’ nti bongere n’amaanyi mu by’enfuna. Ate akulira yunivasite eyo, polof. George Ladaah yabagalizza akadde akebibala e Gulu.