Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Omuduumizi w’amagye Gen Muhoozi Kainerugaba alagidde bakomanda b’ebibinja by’amagye okugafulunya enkambi gatambule engendo mu bitundu gyegasangibwa nga gali bulindaala n’ebyokulwanyisa gasobole okubeera katebEnkola
Enkola eno okutambula wakiri kilomita 30 nga geetisse egayamba okufuna obwa Kalibobbo oba okugamalamu obwa ssemugayaavu n’okubeera obulindaala.
Enkola eno yatandikidde mu nkambi y’amagye g’ ekibinja kya First division ekisinziura e Kakiri era gatindize egendo ne geetoloola okutuuka e Wakiso ate ne gaddayo.
Omwogezi w’amagye Maj Gen Felix Kulaigye yagambye nti aduumira ekibinja kino, Brig. Gen Fred Mwesigwa yakikoze ku biragiro okuva ewomuduizi n’agamba nti n’bibinja ebirala byakugoberera eyo gyebisangibwa.
Yasabye abantu okubeera abakakamu bwe balaba amagye.
Kyokka waliwo ababitaddemu eby’obufuzi nga beebuuza lwaki kino kitandise mu kaseera ka kampeyini ne bagamba nti kandiba akabadi.