Bya. Angel Lubowa
KAMPALA
Gavumenti ewaddeyo obuwumbi bwa ssente za uganda’ 35 n’obukadde 200 okufunira ba ssentebe ba disitulikiti ne bameeya abapya mmotoka zebagenda okukoleramu emirimu.
Kino kitegeeza nti ggwe omuwi w’,omusolo yongera okunywera kubanga exo ssente n’endala eziddukanya gavumenti ziva muggwe.
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi yeyategeezezza bino bwe yabadde mu palamenti eggulo Ku nteekateeka zebalina ku ba meeya b’ebibuga ne ba ssentebe ba disitulikiti.
Yagambye nti baasoose kutumyako mmotoka 90 ez’ekika Kya Toyota Double Cabin, kabangali ezituuka omwezi guno ate endala ezisigadde zituuke mu November.. Uganda erimu disitulikiti nga 181 ng’o allddeko n’ebibuga.