News

FRANK GASHUMBA ADDUKIRIDDE ESSOMERO ERYAMULERA E MASAKA

Published

on

Bya Angel Lubowa

MASAKA

Omukubaganya w’ebirowoozo ku leediyo, ttivi n’emikutu emirala era omusuubuzi Grank Gashumba akunze Bannayuganda bulijjo okujjukira abo ababalera okutuuka webali kati.

Bino yabyogeredde ku ssomero lya St Francis Villa Maria P/S e Masaka bwe yabadde awaayo ensawo za sseminti 100 okuddukirira omulimu.gw’okulidaabiriza.

Yagambye nti ” Tuli kyetuli olwebitundu gye twakulira. Essomero lino nasomerayo okutuuka mu P7 kyokka ndabye nga liri mu mbeerambi kwekuvaayo nga bwe neyama gyebuvuddeko”

Yanyonyodde nti waliwo omukolo gwokusondera essomero lino gwe yeetabako bawaayo obweyamo obwo bweyatuukirizza.

Yasabye abalala abayitirako mu ssomero lino okuvaayo bayambeko kubanga lyadobonkana nyo.ebizimbe ebyaliwo tewakyali.

Yatendereza essomero lino lye yagambye nti lyali limu ku gamaanyi e Masaka era nabantu nga omugenzi Bendicto Kiwanuka, eyaliko gavana wa banka enkulu omugenzi Mubiru n’abalala basomerako mu ssomero eryo.

Yakunze nabantu abalala buli omu asobola okuyambako mu kitundu kyewabwe.

Trending News

Exit mobile version