Connect with us

News

EKIRI E BUSOGA KUBINUKA MASEJJERE, KYABAZINGA AZADDE BALONGO, BWEZA

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Abasoga Bali mukubinuka oluvanyuma lwa Kyabazinga wabwe William Gabula Nadiope IV ne mukyala we , Jovia Mutesi okuzaala Abalongo.

Baazadde Omulangira William Ethan Nadiope ne Omulangira Anold Eli Nadiope abataliiko kamogo era wosomera bino ng’olubiri lulimu akabugumu.

Mu kiwandiko.ekitongole ekyavudde mu Lubiri lwa Kyabazinga, Abalongo baazaaliddwa ku Lwokusatu nga August 27 , 2025.

Bino olugudde mu.matu g’Abasoga ensasu, engoma n’ebirala ne bitandika okuvuga nga kati okunywa n’okulya bikwajja.

Gabula ne mukaziwe kati Nnaalongo baagatobwa mu bufumbo obutukuvu nga November 18,2023 mu Lutikko e Bugembe mu kibuga Jinja.