Bya Basasi Baffe
Kampala
N’OKUTUUSA eggulo waabaddewo abakyalemeddeko nti munnamagye Maj Genero James Birungi yabadde mukwate ng’akumirwa mu kifo eky’enhawulo.
Bino byasoose kusansaana ku mikutu egyenjawulo kyokka ekitingole ky’amagye Kirindiddwa okubikakasa .
Ebintu ebigenda mu maaso mu magye bikakasibwa kitingole kyago ekivunaanyizibwa ku mawulire.
Birungi gyebivuddeko yabadde akulire ekitingole ky’amagye ekikessi ekyayitibwanga CMI .
Wabula omuduumizi wamagye gonna CDF, Genero Muhoozi Kainerugaba yamujgyayo namusindika okukulira ekibinja ky’amagye ga UPDF amakambwe ekya Mountain Division ekikolera mu bitundu by’e Kaseese ne DR_ Congo .
Eno yamazeeyo ebbanga ttono.namusindika ku kitebe kya Uganda e Burundi okukwanaganya ensonga z’amagye.
E Burundi yasikidde
Brigadier Simon Ochan, eyakomezeddwawo ku kitebe ky’amagye.
Ebyayogeddwa ku Maj Gen Birungi tukyayongera okubisimoola.
Gyebivuddeko omwogezi wamagye Colonel Chris Magezi yategeezezza nti ekyukakyuka zezabulijjo ekikolebwa cDF ng’obuyinza bwe bumuwebwa n’omulagira.