Connect with us

News

Eby’okukuba Full Figure Biwanvuye. Waliwo Abalidde Obubaga N’abakolima

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Amawulire g’okufuntula omuwabuzi wa Pulezidenti Museveni atelyantama Full Figure ng’amanyage amatuufu ye Jennifer Namutebi Nakangubi bwe gatandise okusasaana ku mikutu gya sosomidiya eggwanga lyasanuuse.

Full Figure aludde ng’aliisa abantu abamu akakanja mu kubawalabula, okumansa entungo n’okubasomera era abamu ku bano bakubye kasonso.

” Oyo avuma nyo , bamuwakozeeko” waliwo eyawandise bwatyo kyokka abalala bamusaasidde n’,0kivumirira ekikolwa kino eky’obutemu.

Frank Gashumba omusuubuzi era omw’ogezi n’okusunsula ensonga ku Leediyo ne ttivi yawandise,” Tokkirizibwa kutiisatiisa wadde okuvuma oba okukuba omuntu. Oba nga Tokkirizibwa kutiisatiisa wadde okuvuma omuntu ani yakubye Full Figure?”

Yabadde atambulura mu buwufu bwa Pulezidenti Museveni eyagamba nti tewali muntu akirizibwa okutiisatiisa oba okuvuma omuntu olw’ebyobufuzi oba enjawukana endala”

Yakunze aboogezi N’abakozesa sosomidiya okwefuga n’okukozesa olulimi oluvvola, okuwemula n’okwekomako kyokka nabawuliriza nabo okukola kyekimu.

Kyokka Full Figure yaguddewo omusango ku Justine Nammere naye omuwabuzi wa Pulezidenti Museveni nti yeeyamukubye ne bba.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti Full Figure yakoze siteetimenti ku kitebe Kya poliisi etwala Kampala Metropolitan nga kati okunoonyereza kugenda mu maaso.

Yagambye nti ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde bwe yabadde ku Kyadoy Road yalumbiddwa Justine Nammere ne bba ne bamukuba bubi nyo nawulubala.

Bino okubaawo yabadde ayolekera olukiiko lwa Moses Karangwa eyawanguddwa minisita Haruna Kasolo ku kifo Kya Buganda ekya CEC mu kibiina Kya NRM wiiki ewedde.

Ebyagudde ku Full Figure byakwatiddwa mu katambi era waliwo abasajja abalabibwa nga bamufuntula ebikonde ne tteke nga bwe bamuwerekereza ebigambo nti asusse okuvuma.