Politics

Ebyama Lwaki Hon Abdul Katuntu Yeegasse Ku NRM 

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Eyaliko Empologoma y’e Bugweri mu opozisoni ngali mu FDC, Hajj Abdul Katundu nga y’e mubaka w’e Bugweri County amaze ne yeegatta ku NRM mu butongole.

Ono mu opozisoni amazeeyo emyaka 20 kyokka okuva mu 2015 abadde atambulira wakati nga aba FDC bagamba nti NRM yamudedeza abulako tutongozebwa.

Musajja mugezi ate omukozi era waliwo ebigambibwa nti okubeerakwe mu opozisoni kwamusubya dda singa yakonoladda obwa minisita.

Kyokka enjawukana ezizze zigwa mu FDC naye zaamuzingiramu era mu 2016 Yavuganya ku lulwe ng’omuntu FDC yagyesamba.

Ku Lwokutaano Katuntu yabadde wa pulezidenti Museveni mu State House pulezidenti namwaniriza mu butongole mu kabondo k’ababaka ba NRM.

 

Olwo enkeera ku Lwomukaaga yakubye olukungaana ggaggadde e Bugweri okuyiggira pulezidenti obuwagizi era lwetabiddwako ebikonge bya NRM omwabadde ne sipiika Annet Anita Among eyamusabye akolerere pulezidenti Museveni obuterekerayo.

Ensonda zigamba nti Katuntu agafo ganene agamulinze kasita yasaze eddiro.

Yakolokotta nyo gavumenti ng’erinyalye ne opozisoni likanga n’abatatya.

Mu palamenti akuliddeko olukiiko obutali bumu omuli naka COSASE.

Trending News

Exit mobile version