Connect with us

News

Ebya Bobi Wine ne Gen Mugisha Muntu Okwegatta Bavuganye Pulezidenti Museveni Bigulumbya Opozisoni

Published

on

Bya Muwandiisi Waffe

Kampala

Pulaani ereteddwa abamu ku b’oludda oluvuganya okusimbawo bakandideeti babiri bavuganye Pulezidenti Museveni mu kalulu akabindabinda waliwo abagiwakanya.

Mukuseera kino nga NRM esibidde ku Pulezidenti Museveni bbo aba Opozisoni bakyapanga okulaba butya bwebagenda okumwanganga.

Waliwo ekiwendo ekyebibiina ebisatu okuli NUP ekya Hon Robert Kyaggulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, ANT eya Gen Mugisha Muntu ne PFF eya Hajj Erias Lukwago ne Dr Kizza Besigye Okwegatta bakolere wamu mu kalulu balabe nga bateekawo embeera.

Ekiwandiko ekyafulumiziddwa aba PFF kyagambye nti bbo tebagenda kusimbawo kandideeti ku bwa Pulezidenti kyokka beetegefu okuwagira Bobi Wine ne Muntu nga beesimbiddewo wamu.

“,Tulowooza nti Bobi Wine ne Gen Mugisha Muntu nga beesimbyewo mungeri ya namansasaana bayinza okusuuza NRM kubanga babeera bagatta amaanyi lwogoome.

Kino kitegeeza nti NUP ne ANT bibeera bikikola mu kukaanya kubanga amateeka ga Uganda tegakkiririza mu kusimbawo bantu babiri nga bwekiri e Kenya oba mu America nti omu abeera Pulezidenti ate omulala mumyukawe bwebawangula.

Kyokka abatunulizi b’ebyobifuzi bategeezezza nti tebalaba ngeri NUP bweyinza kukwatagana ne ANT mu nkola Eno.

Bagambye nti Uganda temanyiddwa mu mikago gyangeri eyo era ne mu 2016 ky’e kyalemesa Hon Amama Mbabazzi okukwatagana ne Dr Kizza Besigye basimbewo kandideeti Omu.

Embeera Eno waliwo abagamba nti egenda kwanguyiza na NRM kuyisaawo Pulezidenti Museveni nga Opozisoni yekutuddekutuddemu.

Kyokka aba PFF bagambye nti NUP bwetakanye na ANT bajja kula girira bwebagenda okukwasaganya kampeyini zino nti bbo kyebafa kwekulaba nga Opozisoni ekwatira wamu.

NUP mu kiseera kino bakyabinkana nakusunsulamu abantu abasoba mu 1000 abagala ebifo by’obubaka bwa palamenti.

Akakiiko k’ebyokulonda kasaawo olwa October 15 ne 16 okusunsula abagala ebifo by’o buka bwa palamenti n’oluvanyuma kampeyini zitandike.