Connect with us

News

EBIZUUSE KU CHARLES MWESIGWA ATWALA ABAWALA BANNAYUGANDA NE BABEEBAKAKO KIRINDI E DUBAI N’OKUBATTA

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Eggulo webwazibidde nga Gavumenti etandise okunoonyereza n’okulaba engeri gy’egenda okukwataganamu ne poliisi y’ensi yonna eya Interpol okukwata omusajja Munnayuganda eyafa empeke atwala abawala e Dubai ne beebakibwako kirindi n’okubakolako efujjo ekambwe.

Mwesigwa ngatemera mu gy’obukulu nga 60, yaseguwala n’okumalwamu ssente buli muwala gwalaba ng’anoonya emirimu amulowooleza mutwalira basajja abaseegu e Dubai ababeebakako kirindi, okubajooga nga bakozesa mu mukwano ogw’okubatulugunya omuli n’okubakojobako ate abagaana babatta.

Omusajja Ono agambibwa nti yasooka kubeera dereeva mu kibuga London ekya Bungereza kati okumala emyaka egisoba mu 25 asisidde Dubai gyakolanga bulooka wabakazi mu bayaga, abagagga abaseegu ne ba sereebu.

Amawulire g’ekitongole Kya Bungereza ekya BBC gegakwekudde ‘Omusiru’ Ono Oluvanyuma lw’okutemezebwako nti yeeyetolerwako abawala Bannayuganda abatundibwa ng’ensolo abasajja ne babakozesa mu mukwano.

Aba BBC bamuteze bannamawulire abekyama ne yeeyotogola nti alina abawala abasoba mu 25 bosasula ne weegatta nabo.nga bwoyagala nti era basobola nokukola ebitakkirizika kasita omusasula.

Mu bino kigambibwa nti mulimu okubakozesa ekirindi ng’abasajja batamuuse enjaga ebakubye, okubambula ne beetigonyola ng’abasajja banyumirwa, okubasitamira, okubakunkumulira mu kamwa ne ku mibiri gyabwe oba okubaliisa empitambi nga bwe bakwatibwa ku butambi.

Mwesigwa yagambye bannamawulire ababadde beefudde abategesi bakabaga k’obuseegu nti buli muwala bamusasula Doola 1000 mu za Uganda obukadde nga 3 n’emitwalo 50. Kyokka zino zezisokerwako ng’rbyefujjo ery’egwenyufu eddala ssente zongerwako nyo.

Kyokka ekibi kyazuuse nti abawala batwala mu bino abagya e Kampala ye oba bakayungirizibe nga babamatiza nti bagenda kukola mirimu gya bbeeyi.

Wabula bwe batuuka ng’ebintu bikyuka nga babakaka kwetunda mu gasajja mu ngeri embi enyo era abawakanya batibwa.

Waliwo abawala abagambibwa okufiira e Dubai gye buvuddeko omuli ne bagamba nti baagwa okuva ku bizimbe ebiwanvu bebagamba nti baalimu omukono gwa Mwesigwa.

Mu bigsnbobye yeewanye nti ab’obuyinza e Dubai ne ku kitebe Kya Uganda e Dubai ne Kampala bamuli.mu ngaloze tewali kyebasobola kumukola.

Naye Oluvanyuma bwe yategedde nti bamugudde mu buwufu yeekazizza nti ye alina emikeano gy’abagagga nabadigize bannagwadda mingi nti abawala beebamwesibako abatwaleyo beetege.

Kyokka minusita w”eggwanga owabavubuka n’abaana Balaam Barugahara yategeezezza nti Mwesigwa ateekwa okukwatibwa avunaanibwe nti byakola bimenya mateeka n’,okutyoboola abakazi gattako okuwebuula eggwanga.

Bino byasanze ne ISO ne ESO nabyo biggudddwo fayiro nga kati omuyiggo gwegaseemu poliisi ne Interpol.

Mwesigwa waliwo abamumanyi.mu Kampala era emirimugye gimanyiddwa.

Kyategeezeddwa nti alina babulooka abakazi n’abasajja mu Kampala abasendasenda abakazi ne balubasuulamu. Bano oluusi bawambibwako ne paasipoota nga bakatuika e Dubai basooke basasule ssente zabeera abataddemu nga bayita mu kwetunda ku kifuba eri abasajja babafunira nga naye yasooka okubalozaako oluusi mu mirengo.

Alina amadduuka gamassimu mu Kampala ku Pioneer Mall ne Mutaasa ngabobuyinza baatandise okuinyayo akagere.