News

EBITIISA MU MUSANGO GWA CHAMELEON NE DANIELLA

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Empaaba ya Daniella Atim ng’ono ye Mukyala w’omuyimbi Dr Jose Chameleon ng’amanyage amatuufu ye Joseph Mayanja etiisizza abamu ku mikwano n’abawagizi ba chameleon . Basigadde beebuuza kiki olumu abakazi kye baagala.

John Mvatovu ow’e Namungoona be Mukyala Ester Kafeero abamu ku bawagizi ba Chameleon baakulembeddemu abalala ntoko abazikubyemu amakiikakiika nga bategedde eby’omusango guno kati ogw’ogerwako wonna.

N’abayimbi abasajja bangi abasabye EYEWITNESS 24.COM okusirikira amanya gabwe baategeezezza nti bali mu kutya era bagoberera omusango guno n’amaanyi.

” Chali Waffe Ali mu buzibu ate nga ffenna abayimbi abasinga eyo gye twolekedde naye olw’okulaga ensonga zikyali mu kkooti katusooke tuziwe obudde naye sibyangu boyi” bwe yategeezezza.

Wabula waliwo abakazi abamu abawagidde Atim nti ayise mu bjngi bawukane.

Mukyala Atim ngayita mu bannamateekabe aba E.Wamimbi advocates and solicitor yategeezezza kkooti enkulu ekola ku nsonga z’amaka mu Kampala nti obufumbo bwe baskola ne bba nga June 7,2008 tebukyalina makulu.

Yagambye nti Chameleon yamusuulawo n’abaana babwe bataano, yamutulugunyanga nyo, tamulaga lasvi era yamuzira gattako emize emirala era yasabye kkooti ebagatulule buli omu akole bibye.

Kyokka yasabye kkooti amaka gabwe e Sseguku mu Makindye Ssabagabo Municipality kkooti egamuwe nga ye n’obuyinza ku baana bwonna bumuwebwe era bba asigale ng’amulabirira mu mateeka.

Kyokka Chameleon bino byonna abiwakanyizza n’agamba nti byabulimba kubanga wadde abeera bizze n’emirimugye egy’okuyimba mu ggwanga n’amawanga amalala afiisa obudde bwa mukaziwe, okulabirira famire n’rbirala.

Yagambye nti n’okusalawo okutwala ffamire ye mu America mu 2018 yakipanga kukakasa nti babeera bulungi era abadde abalambula.

Yeekokodde obubinja obuwabiza mukaziwe mu America nafuuka Engo era ebyama bingi n’obimba azze abiteeka mu mawulire n’emikutu gya sosomidiya ekitadde obulamubwe ewabi n’,okulwala.

Yasabye kkooti ebagatulule bwekiba nga kyekinasanyusa Daniella kyokka ebyokumuwa enyumba ye Sseguku yabigaanye nti esiggale nga ya ffamire era naye akkiribwe okulabangd abaana babwe nga bwayagadde.

N’ebyokulabirira Daniella bwe baawukana yagambye nti abiwakanya kubanga naye akola gyali yeerabirire era obuvunasnyizibwa bwabaana babutwale bombi. Chameleon ensonga yaziyisizza mu balooyabe aba M/S Muwema and Co Advocates.

Trending News

Exit mobile version