Connect with us

News

DR KIZZA BESIGYE MUYI

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Embeera y’obulamu bwa Dr Kizza Besigye mu kkomera gye yasibirwa e Luzira mbi yafunye n’ekifu ku maaso.

Ensonda mu kkomera zaategeezezza nti Besigye mulwadde nyo tasobola na kwefulumya mu kasenge mwali.

Kino kiwaliriza n”abekkomera okutandika okukugira abagenyibe okumulabako

Kyokka ab’obuyinza e Luzira baabadde tebanatangaaza ku mbeera ya bulamu bwa Dr Besigye egambibwa nti etandise okutiisa enyo.

Wabula munnamateekawe Hajj Erias Lukwago yategeezezza nti bwe baabadde e Luzira ku wikendi Besigye baasanze mulwadde ddala.

” Bwetwagenzeeyo Besigye yabadde alumizibwa era teyasobodde nakuvaayo mu kasenge mwali ” Lukwago bwe yategeezezza.

Yagambye nti munne Hajj Obeid Lutale bwebavunaanibwa yabategeezezza nti naamaaso gafunye ekifu, munnafu nyo alina ne kamu nguBesigye

Ku Mmande Besigye ne Kamulegeya baabadde basuubirwa mu kkooti kyokka tebalabiseeko nga kigambibwa nti kyavudde ku mbeera ya Besigye embi.

Kino kyawaliriza kkooti enkulu gye bavunaanibwa okwongezaayo omusango okutuuka nga October 1, 2025.

Besigye ne Lutale abakwatibwa e Kenya omwaka ogiwedde mu November bavunaanibwa emisamgo egya maggomola