Connect with us

News

BYABAKAMA AFUUYE FIRIMBI KU BAAGALA OBUBAKA BWA PALAMENTI

Published

on

Bya Angel Lubowa

Kampala

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama alangiridde nti okuwandika abagala ebifo by’obubaka bwa palamenti kwakubaawo Lwakusatu nga October 22ne October 23 zokka.

Ate okulonda ababaka ne pulezidenti kutegekeddwa nga January 15,2026.

Mu kulangirira okwenjawulo okwongedde okuteeka eggwanga mu kifanaanyi n’ebbugumu ly’okulonda,Byabakama era yalabudde ku fujjo mu kampeyini n’okulonda, obutakozesa ssente mu kampeyini mu ngeri emenya amateeka n’okukomya okunoonya akalulu ng’ebula ennaku bbiri akalulu kobwapulezidentu kasuulibwe.

Mukiseera kino ng’okwewandiisa kwa wiiki eno ebyokutegeka emikolo gy’okusonda ssente mungeri ya kampeyini giyimiriziddwako ate n’okunoonya akalulu kulina kulinda ennaku entongole ezinalangibwa ng’okwewandiisa kuwedde.
“Mugondere amateeka ate tenwebyigira mu fujjo okulonda kutambule bulungi”bwe yalabudde.

Okuwandiisa abagala obubaka kugenda kuleeta ebugumu mu kampeyini kubanga buli konsitityuwensi agenda kubeera mu kayisaanyo kabagala ebifo omuli abasimbiddwawo ebibiina n’abazze ku lwabwe.