Bya Muwandiisi Waffe
Abalimi n’abalunzi mu bizinga e Buvuma,Gavumenti ebawadde ebikozesebwa bya bukadde 360 beekulakulanye.
Bino byabawareddwa mu nkola y’okwongera omutindo ku by’obulimi n’obulunzi okusobozesa abalimi okwegya mu bwavu n’okuganyulwa enyo.
Bino mwabaddemu ebyuma ebikongola kasooli 15, amatundubaali nebirala.
Omubaka w palamenti ow’ekitundu kino , Robert Migadde Ndugwa ate akulira eby’emirimu CAO mu disitulikiti Eno,Isa Mbooge ne ssentebe wa LC 5 bebabikwasiddwa.
Migadde nga yakulira ekiwendo ekitunda Pulezidenti Museveni mu Buganda yakunze Abavuma okuwagira NRM ne Pulezidenti Museveni mu kalulu era nasaba abafunye ebintu ebyo okubozesa obulungi.