Bya Musasi Waffe
KAMPALA
Mukiseera kino nga kaadi ya MP omukazi NUP gw’egenda okusimbawo mu Kampala etemyetemye ekibiina olwa Hon Shamim Malende Ne Hon Zahara Luyirika okwogeregana amafukuule n’okweyisaamu eggaali, tuzudde Bobi Wine wafiira ku babiri bano.
Ensonda mu NUP zaategeezza nti pulinsipo ne mukyala we Barbie Kyagulanyi bakyaliwooza nti Hon Malende mukiseera kino omubaka omukazi owa Kampala akyalina enkizo.
Malende ekituufu ekisanha kino tabadde nyo mu palamenti olwobulwadde obubadde bumutawaanya kyokka buli lwabadde n’obudde ayambye ku NUP mu kkooti okulwanirira abantu baayo abakwatibwa oba okuvunaanibwa ngakwasiza wamu ne balooya abalala.
Kyokka Zahara naye yazze gawanye era kigambibwa nti ssabawandiisi wa NUP, Mw Rubongoya ate ye alowooza nti Zahara yandisingako.
Zahara nga mukiseera kino sipiika mu lukiiko lwa KCCA azze alsbwako ne Rubongoya era enkolagana zabwe abamu bagamba nti bandibaamu oluninkini.
Kati bwebituuse wano ensonga ne zisajjuka era bombi bano negaali zaabwe bwe batakomwako batuuse okwabuluza NUP mu Kampala.
Embeera Eno yeeyawaliriza Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine okulagira omumyukawe, atwala Buganda, Muwanga Kivumbi okubatuuza.
Kivumbi bwe yabadde ayogera ku nsonga zino ku wikendi yalabudde Zahara ne Malende okukomya okweyisaamu eggaali n’okulumvagana mu bubi ekitadde ekibiina ewazibu.
Ono yalabudde nti singa tebeddalo NUP ekyayinza bombi okubagob mu lwokaano n’efunayo omuntu omulala.