News

BASSE OMUNTU OMULAMBO NE BAGUTEMATEMA NE BAGUPAKIRA EKIBOKISI E NSANGI

Published

on

Bya Muwandiisi Waffe

NSANGI

Ekikangabwa kigudde e Nsangi ku lw’e Masaka abantu abatanamanyika bwe Basse omumtu omufu ne bamutematema ne bamupakira mu kibokisi.

Oluvanyuma ekibokisi bakusudde mu mugga ng’eno abatuuze gye baakigwiriddeko.

Bino byabaddewo ku Lwokutaano kumakya omutuuze William Musoke eyabadde agenze okukuba bulooka mu mugga ogwawula Nsangi ku Buloba e Manja bwe yagudde ku ddambo lino.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yategeezezza nti abatuuze bategeezezza poliisi ye Nsangi eyasitukiddemu.negyawo omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika lya KCCA e Mulago.

Tekinamanyibwa oba eyatemuddwa yabadde mukazi oba musajja, mwanamuto oba munyu mukulu.

Poliisi yasabye buli eyabuliddwako omuntuwe okugenda e Mulago n’alina kyamanyi ekiyinza okuyamba okwata abatemu okugiwa amawulire.

Trending News

Exit mobile version