Connect with us

News

BALUMIRIZZA POLIISI ENTEBBE OKULEMESA OMULAMUZI OKUTUUKA KU TTAKA ERIKAYAANIRWA

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAWUKU

ABAKUUMI ba sasilimu ababadde abakambwe baalemesezza omulamuzi omukulu owa kkooti ento e Ntebbe, Stella Maris Amabillis okutuuka ku ttaka eririko enkayaana ez’amaanyi.

Embeera y’obunkeenke eyabaddewo ng’abakuumi ba kkampuni ya NEC security company ltd beetal n’okuteekawo ebipande enigaana omuntu yenna okulinya ku ttaka eruo , omulamuzi kwe yasinzidde

ebyokutuuka ku ttaka n”abiyimiriza

Bino byonna badiridde DPC w”Entebbe okugaana okuwereza poliisi okukuuma omulamuzi eyabadde oe’okutuuza kkooti eno Ku Locus ( kifo ekikayaanirwa okusobola okumanya ekituufu.

Wetwagendede mu kyapa nga DPC tanabaako kyatangaaza.

Kyokka nga August 29, omwaka guno kkooti yawandikidde DPC ngemulagira okuwa omulamuzi Amabillis obukuumi kyatakoze naawa abakuumi ku ttaka ekyanya okulemesa kkooti.

Wano abamu ku bali mu nsonga zino webasabidde abanene mu poliisi okulondoola ensonga Eno.

Ettaka lino lisangibwa mu Bukasa cell, Kawuku okumpi n’ekibuga Ntebbe mu disitulikiti y’e Wakiso.

Liriko omusango omunene mu kkooti enkulu e Ntebbe Wakati wabawaabi okuli Mukyala Lukwago Marietta Agnes ne banne abalala bataano abawabira Eleanor Maxine Ankarar okwagala okutwala ettaka lino mu butali bulambulukufu..

Omusango omukulu nnamba 540/ 2025 gukyayinda kyokka omusango omulala ogw’enyongereza ku fayiro nnamba 282/2025 gwe gwabadde gusitudde kkooti okugenda ku ttaka lino erisangibwa ku Block 482 kyokka nga liriko poloti ezisoba mu 10 ezasalwako.

Bino okubaawo nga waliwo nebibadde byogerwa nti ofiisi evunaanyixibwa ku kulwanyisa enguzi mu Maka g’obwapulezidenti nayo ensonga zino yaziyingiramu mu ngeri ya kyekubiira ng’eringa Erina oludda lw’ewagira.

Kyokka omu ku boogezi mu kitongole kino yategeezezza abamawulire gye buvuddeko nti bino byabulimba kubanga omulimu ogwabwe kulwanyisa nguzi.

Yagaseeko nti ettaka lino n’enkayaana eziriko babadde bazinoonyerezaako ne poliisi n’ensonga ziri mu kkooti n’agamba nti abawulira nga sibamativu basobola okuyambibwa ebitongole eby’enkizo mu bukenuzi byonna.