Bya Angel Lubowa
Kampala
Kaminsona wa poliisi Godfrey Maate Bolingo abadde akulira poliisi y’essamba za gavumenti ez’ebinazi e Sango Bay afudde mungeri etategeerekeka nga kigambibwa nti baamuwadde obutwa.
Maate era yabadde akulira eby’okukuuma ebigezo bya UNEB mu ggwanga.
Okufakwe okukubye banne encukwe kwabaddewo ku Ssande kumakya olubuto bwe lwatandise okumusalira ne lutabuka ne bamutwala mangu mu ddwaliro lya Doctors clinic e Kakuuto kyokka baatuuse afudde.
Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaliro e Masaka okwekebejebwa okumanya ekituufu.
Kyokka waliwo ebyogerwa nti ono baamuwadde butwa oba ekibumba ky’Empisi kubanga abadde n’abalabe bangi nyo.
Pulogekiti yebinazi erimu obutitimbe bwa ssente ezisoba mu buwumbi 200 gattako okugobaganya abantu ku ttaka.
Gavumenti yeeyama okusaamu obuwumbo 89 ate amakampuni agobwananyini ne gasaamu ssente ezisoba mu buwumbi 735.
Munkola eno gavumenti yawaayo ttaka, enguudo ne kalonda omulala n’okusasula abakosebwa kyokka abamu babadde babalwa mufuulo oba obutasasulwa kyokka nga bagobeddwa.
Omugenzi bino byonna waliwo abagamba nti abibadde wakati ngateeka ebiragiro bya pulezidenti Museveni mu nkola emokugoba abantu ku taka kisobozese kkampuni bbiri eya Bukoola estates ne Bidco Uganda okusimba ebinazi.Zino zaawebwa yiika 22028 mu kyenkanyi ku yiika 65000 eza Sango Bay kubanga gavumenti egamba nti Uganda ekozesa ssente nyingi ku butto ayingizibwa mu ggwanga.
Gyebuvuddeko Meeya w’e Mutukula, David Mujaasi mu March abadde yaloopa Maate , RDC Ignatius Tumwesiga agamba nti wa ffamire ya pulezidenti nabalala ewakulira ensonga zettaka mu State House, Brig Gen Moses Lukyamuzi nti baasindikiriza abantu 3000 n’omusobyo kyokka Maate bino yabisambajja.