Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Waabaddewo obunkenke ku luguudo lw’e Busabala ababbi ababadde n’amajambiya n’emmundu bwe baazinzeeko edduuka lya mobile money ne babba.
Bino byabaddewo ku ssaawa nga 3 ez’ekiro ku Ndikuttamanda ne Gwowonyeggere.
Bwe baasabye ssente mu bukambwe omukazi owa mobile money naziwaayo mulirwana Ow’edduka kwe kuvaayo alabe ohubadde kyokka ne bamutematema ne.bamuleka ku bisago.
Baabadde basimbula owa boda boda nagezaako okubenganga ono ne bamukuba amasasi abiri mu kifuba ne basimbula.
Omu.ku baabaddewo yategeezezza nti baabadde bsna ku piki bbiri ng’alina emmundu ali omu ate abalala nga balina majambiya.
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti okubuuliriza kugenda mu maaso.
Ensonda okuva ku poliisi zagambye nti obunyazi obulala obw’engeri Eno bwabaddewo e Kajjansi ne Mutundwe mu budde kumpi bwebumu.