Abanyarwanda Bannansangwa abamanyiddwa nga Abavandimwe bakyagenda mu maaso n’okubugiriza Pulezidenti Yoweri Museveni mu muyiggo gw’obululu gwaliko okuddamu okufuga eggwanga.
Baatandikidde Bukalasa mu Luweero Pulezidenti gye yabadde ku Lwokubiri ng’atandika omuyiggo gw’obululu.
Bano abakulirwa omusuubuzi era omukubaganya w’ebirowoozo eby’ensonga Ku leediyo, ttivi n’emikutu gyamawulire, Frank Gashumba baatimbye ebipande okutandikira e Bombo okutuuka e Bukalasa.
Baabadde banekanekanye mu mijoozi egiwaana Pulezidenti era beenyigidde ne mu kakuyege okulaga abantu lwaki Museveni bakyamwetaaga.
Namungi wa’bantu nga ayaniliza Museveni
Abavandimwe bagamba nti kino bakikola okwebaza Pulezidenti w’eggwanga okubalwanirira mu lutalo lw’okufuna Paasipoota N’endagamuntu lwebabademu nga basosolebwa wadde nano Bannayuganda ng’abalala.
Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogera eri abantu abangi abakungaanye yagambye nti NRM gye balina okulonda esobole okukuuma ebirungi n’enkulakulana gye yaleeta bukya ekwata buyinza mu 1986.
Yagambye nti olutalo lwokununula Uganda lwatandikira Luweero era b’abasiima olwobuwagizi n’abasaba bakuume ky’e batuuuseeko.
Museveni akyali mu Luweero yagambye nti ebisinga ng’ebyobulamu, eby’enfuna, eby’ensoma nebyentambula bikuze kinene okuva webabisanga n’agamba nti kati baagala kwongera ku nyingiza ya buli Munnayuganda.
Yeeweze nokulwanyisa ebbula ly’e mirimu naddala mu bavubuka.