Connect with us

Politics

Abavandimwe Balangiridde_Akalulu Tukawadde M7!

Published

on

Bya Angel Lubowa

SERENA_Kampala

‘Omuntu atubeereddewo bwati nakomyawo ekitiibwa kyaffe n’obwenkanya ng’amawanga amalala ssemateeka gayogerako bwe gayisibwa mu kufuna endagamuntu, paasipooti n’ebiwandiko eby’enkizo tewali kye tusobola kusasula okugyako okumuwa akalulu’

Bwatyo ssentebe w’Abanyarwanda abazaaliranwa mu Uganda abamanyiddwa nga Abavandimwe bwe yalangiridde mu lukiiko lw’abamawilire ku Serena Hotel mu Kampala eggulo.

Yabadde abugiriziddws abakulembeze b’Abavandimwe okwetoloola eggwanga lyonna.

Yagambye nti olw’okulaga okusiima kwabwe eri Pulezidenti Museveni, ku kye yabakoledde okubawa o bwenkanya ngayita mu (executive order) oba ekiragiro eky’enjawulo gyebivuddeko nabo basazeewo bamuwagire mu kulonda kwa 2026_2031.

” Tugenda kwetoloola eggwanga nga tumuyiggira obuwagizi. Abavubi bagamba nti akuwa gw’owa” Gashumba bwe yagay.

Yalombozze ennaku gye bayiseemu.ku bannabwe ababadde bakibwa paasipooti n’endagamuntu nti kati ekiragiro kyaleesewo enjawulo n’alaga n’abamu ku baddoziddwa paasipooti ezaali zawambibwa n’abazifunye.

Yakjukuza banne nti balina kugoberera mitendera Pulezidenti gye yalambika omuli ebbaluwa ya LC 1, LC 3, GISo ne RDC olwo bazitwale mu offiisi za NIRA ezibali okumpi kisobozese abakola ku bya paasipooti mu minisitule y’ensonga ez’omunda okukakasa nti ddala Bannansi.

Okujungaana lwabadde lwa bugumu olw’etabiddwamu abamu ku Bavandimwe abasezeeko era bakira bawaga.ne ssekuwaga.

Oluvanyuma baatongozza okuwagira Pulezidenti Museveni nga bateela emikono ku kifanaanyikye gaggadde.