Bya Angel Lubowa
Kampala
Ekelezia Katolika e Kenya eyimiriza evinyo ebadde ekozesebwa mu kusembeza abakkiriza ng”entabwe evudde ku batamiivu abasusse okugyekarankira era ebadde etundwa kyere wonna mu mabbaala.
Ssabasumba w’essaza ly’e Nyeri, Bishopu Anthony Muheria yategeezezza nti baasazeewo ng’olukiiko lw’Abasumba e Kenya okukozesa evinyo empya ey’enjawulo ngeno ya Ekelezia yokka.
“Evinyo eno tekkirizibwa kutundibwa mu bbaala kubanga tugirinako obwannanyini nga olukiiko lwabasumba olwa Kenyan conference of Catholic Bishops (KCCB)” bwe yagambye.
Okugyawula ku vinyo endala eriko akabonero k’olukiiko lwabwe nagamba nti enkadde ebadde ewebuula ekitiibwa kya Katonda,esakalamentu lya komunyo ne Babishopu
Babishopu baagambye nti tekiyinza kukkirizibwa evinyo ekozesebwa mu kelezia okuba ng’ate abatamiivu bagisabula okukeesesa obudde mu mabbaala nti baabadde balina ogibalekera bbo bafune eyenjawulo eyatandise okukola wonna mu ggwanga.