Connect with us

News

Abantu 8 Sauna Ebookezza E Makindye

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Abamu badduse bukunya abalala esuuka zagendedde mu ngalo mu kavuvungano ka sauna eyayabise ng’abantu bali mu kwota.

N’okutuusa kati poliisi mu Kampala ekyanoonyereza ekyavuddeko Sauna okwabika ng’abantu abawerako bali mu kwota era bangi bavuddeyo n’ebisago.

Kyokka abamu ku baabaddewo baategeezezza nti baasoose kuwulira bbugumu eryeyongedde okusingako kyokka nga baabadde sibebalyongezza.

Nti ekyadiridde kutokota okwamaanyi n’oluvanyuma ekintu ne kitulika omulundi gumu olwejje ne lumansuka .

Bino byabaddewo e Buziga country club ku kyalo Buziga e Makindye mu Kampala ku Ssande ekiro.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire yagambye nti waliwo abantu 8 abagendedde ku bisago.

[8/25, 12:31 PM] Angel Lubowa Gashumba Reporter: Sauna