Bya Angel Lubowa
BUSOGA
Abakulembeze ba SACCO abeefuula ba nnampulirazibi ne bava ku biragiro bya Pulezidenti Museveni obutazzanyira mu ssente zaawa abanaku okwekulakulanya babavunaanye.
Abavunaaniddwa bonna bakulu mu Busalamu ward Sacco e Luuka mu Busoga.
Abavunaaniddwa y’e Buwote Stephen nga ye ssentebe wa sacco eno, Nangobi Safina omuwandiisi ne Nankangu Ziyada omuwanika.
Bonsatule baasimboddwa mu maaso g’omulamuzi omukulu owa kkooti ento e Iganga gye baabuliddwa okusaba ssente abantu bebawa ssente za sacco nga bakataddewo nga akakwakulizo.
Okusinziira ku mpaaba y’omuwaabi wa gavumenti,bano baafuna ssente mu lukujjukujju okuva mu bammemba abaalinga bagenda okuwebwa ssente.
Emisango gino kigambibwa nti baagizza wakati wa May ne July omwaka guno ogwa 2025 nga basinziira mu kabuga k’e Busalamu Town Council mu disitulikiti y’e Luuka.
Emisango baagyegaanye kkooti kwe kubasindika ku alinanda okutuusa nga
16 September 2025.