Bya Angel Lubowa
Kampala
Bwekutabeere kuwonga nyo, e Kenya wandibaayo vvaawompitewo olw’okufa kwa Raila Omolo Odinga abamu kwebatandise okuwanuuza nti kwabaddemu sayansi.
Odinga 80 yafiridde mu ddwaliro e Kerala mu Buyindi oluvanyuma lw’okwesiba omutima.
Bino byamusanze mu ggwanga lino gy’abadde amaze ennaku ng’abakugu bamwekebejja obulamubwe.
Abamu ku Bannabyabufuzi e Kenya ennaku ezo baayisa emimwa mu mbeera y”obulamubwe nti etiisa kyokka mukuluwe Dr Odinga ne mukyalawe Ida Odinga ne babisambajja nti yabadde afunyemu bukosefu era ng’omuntu omulala yenna.
Kati amawulire g’okufakwe waliwo begakanze naddala ate nga bwekimanyiddwa nti Bannabyabufuzi tebamala gafa mu Africa n’ensi ezimu ewali ebyobufuzi eby’okufa n’okuwona.
Waliwo abalowooza nti waliwo sayansi era abavubuka ne Bannakenya abamu baabadde batandise okukola egujjo e Kibera n’okuggala enguudo.
Pulezidenti wa Kenya, Dr William Ruto ne ffamire ya Raila baabadde booked boogeddeko eri eggwanga okuzza embeera.mu nteeko.
Byonna ebiyinza okudirira ye Raila yafudde kyokka kigenda kukosa nyo Kenya kubanga abadde tafiira ku bbala limu era nga batabuka nabo ayanguwa mangu okutabagana nabo ku lwobulungi bwa Kenya eyawamu.
EBIMUKWATAKO
Yazaalibwa 1945, January 7 e Maseno, Kisumu nga yoomu ku baana b’omugenzi Jaramogi Oginga Odinga ono yaliko omumyuka wa pulezidenti Jomo Kenyatta bwe baali tebanatabuka amale amusibe.
Kwekugamba obwa opozisoni bumubadde mu musaayi okuva ku kitaawe era obuyinza bwokufuga Kenya bumuyise mu myagaanya gya ngalo era nga kitaawe.
Yawerezaako nga ssaabaminisita okuva 2008 okutuuka mu 2013 ate yaliko omubaka w’essaza ly’e Langata wakati wa 1992 ne 2013.
Bweyava ku bwa ssaabaminisita yafuuka akulira oludda oluvuganya gavumenti nakulira nekibiina kya Azimio la Umoja_ One Kenya coalition party.
AVUGANYIZA ENFUNDA 5
Yavuganya obwa pulezidenti e Kenya mu 1997 wansi wekibiina kya NDP,2007 yali wa ODM Mwai Kibaki mweyamuwangulira awatono,2013 yali wa CORD,2017 yali NASA ne 2022 yali wa Azimio la Umoja nga buli.mulundi agamba bamubbye kyokka mu 2017 mwokka kkooti lweyasala nti yali abiddwa neragira akalulu kaddibwemu kyokka ate nakazira olwo pulezidenti Uhuru Kenyatta eyali amubbye nawangula kyere.
Waafiridde nga balinya mu kimu ne Dr Ruto era yamuyambye nyo mu kwekalakaasa kwabavubuka ba Gen Z era basajjabe ne balya nagafo mu gavumenti. Waliwo ebigambibwa nti Dr Ruto abadde agenda musuulira tawulo mu kalulu ka 2027 wakiri afugeko.