Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Abantu 190 abesimbawo okuvuganya mu kamyufu ka NRM kyokka ne bagwa yategeezezza nti agenda kuvuganya ku bifo y’obubaka bwa palace palamenti nga bannamunigina.
Bagambye okuwangulibwa kwabwe kwalimu kyekubiira, obubbi, okutiisatiiisa n’emivuyo emirala.
Bino webigyidde nga n’ekibiina kya NUP nakyo kiri mu kayisaanyo kabaali bavuganya mu kamyufu kyokka ne batafuna kaaadi ya kibiina nabo abeesomye okuvuganya ku lwabwe.
Akulira ekibiina ekigatta aba NRM abawangulwa mu kamyufu Anthony Esenu yategeezezza abamawulire nti baasisinkanye Pulezidenti Museveni mu Arua ne bamutegeeza nti bababba bubbi nti nabakiriza okuvuganya.
Kyokka yagambye nti Pulezidenti Museveni yabawadde akakwakulizo nti abo bokka abava mu bitundu nga opozisoni yamunguuba bebeera beesimbawo ku lwabwe wabula gyerina amaanyi bakireke obutanafuya kibiina nga opozisoni ebawangudde.
Ebigambo bino byabadde tebinakakasibwa Pulezidenti kubanga azze agaana aba NRM okuvuganya ku lwabwe nga balemeddwa mu kamyufu.
Gyebuvuddeko abantu nga omubaka w’e Lwemiyaga, Theodore Ssekikubo baalaalise okuvuganya ku lwabwe nga bagamba nti bababbye mu kamyufu. Ssekikubo yawangulwa Brig Gen Emanuel Rwashande eyawummula amagye gyebuvuddeko katono.