Connect with us

Politics

Ebyabadde Mu Kkampeyini Za Pulezidenti Museveni Mu Bukiika Kkono

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPEYINI

Pulezidenti Museveni usable abalonzi Mu bitundu by’obukiika kkono bwa Uganda okumuwagira asobole okwongera okuleeta emirembe n’enkulakulana.

Kyokka abalonzi bamusomoozezza ku nguudo ezikyali embi, obubuga bwe baagala bukuzibwe bifuuke bibuga ,ebbula lyemirimu, eby’obujanjabi ebitali ku mutindo n’obwavu n’emisolo egiri waggulu.

Bino byonna byabadde Mu nkungaana za Pulezidenti nga ye kandideeti wa NRM zazze akuba okuva lwe yeewandisa.

Yatandikira Luweero n’oluvanyuma natalaga obukiika kkono naddala Mu Lango, West Nile n’ebitundu by’e Acholi.

Mu West Nile Pulezidenti Museveni yakkiriza nti enguudo zikyalimbi ekyongedde okukonzibya eby’obusuubuzi kyokka nabasuubiza nti zaakukolwako.

Yabawadde akagero k’omubaazi n’agamba nti enkulakulana eringa kubaaga nte ogenda mpolampola. Osooka kumala kugulu okumu.n’olyoka okwata okulala .

Yagambye nti endagaano z’okukola enguudo okuli Nebbi_Goli_Vurra ne Nebbi_Arua city zigenda kuteekebwako emikono mu April omwaka ogujja.

Yababbiddeko nti waliwo amalwaliro 7 agagenda okuzimbibwa oba okuddukirirwa naddala ery’e Atyenda health centre 11, Padea health centre 11, Nyapea, Paidha, ne Athuma.

Yalalise ne gavumenti okusaawo ensawo okuddukirira abakulembeze abensikirano ne Bannadiini n’endala ey’okuyamba abayizi ku yunivasite.

Mu bukiika kkono Museveni yawerekeddwako omumyuka wa sipiika Hon Thomas Tayebwa, ssaabawandiisi wa NRM, Richard Tadwong ne mukyalawe Janet Kataha Museveni bonna bakira abasaba abantu okuwagira Museveni mu kalulu akabindabinda.