Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Abantu abakunukiriza mu 100 bebakwatiddwa ab’ebyokwerinda mu vvaaawompitewo w’okuwandiisa Bakandideeti 8 abagemda okuvuganya ku bwa Pulezidenti mu kalulu ka 2026.
Mu kwewandiisa kuno okwabadde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda ekipya e Kajjansi ku luguudo lw’e Ntebbe, poliisi, amagye n’abebyokwerinda abalala baabadde bulindaala wonna mu Kampala n’emiriraano.
Abantu abewandisizza kwabaddeko Pulezidenti Yoweri Museveni (NRM) , Robert Kyaggulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine( NUP),, Kasibante Robert (NPP), Mabirizi Joseph (CP),Mandala Mafabi James Nathan (FDC), Mugisha Gregory Muntu oyera(ANT),Munyagwa Mubarak Sserunga(CMP) ne Bulira Frank Kabinga(RPP).
Kyokka mu bano Pulezidenti Museveni ne Bobi Wine beebasinze okubeera nebugumu gattako enkungaana gagadde ng’olwa Museveni lwabadde ku kisaawe e Kololo gye lwajuza ne kufuuwa ku Lwokubiri ate olwa BOBI lwabadde Nateete nayo bsbooze.
Ensonda mu seculite zaayegeezezza nti waliwo abantu bangiko abakwatiddwa nga bagezaako okukola efujjo oba okumenya amateeka.
Wabula Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano , SSP Patrick Onyango, yagambye nti wadde tewabadde bumenyi bw’amateeka buyitiridde kyokka era waliwo abakwatiddwa.
Kuno kuliko abantu 44 abayooleddwa nga Pulezidenti Museveni akubye olukungaana e Kololo Oluvanyuma lwokwewandisa omuli n’ababadde babba amassimu.
Bano abasinga bagaliddwa ku poliisi ya Jinja road.
Ate abalala 35 bayooleddwa Kajjansi nga bamenya amateeka gokwewandiisa.
Mu bano mwemw abadde n’o mubaka Allan Ssewanyana (Makindye West) nekibinja ky’e wabula abasinga baatereddwa ku kakalu ka poliisi.
Waliwo abakwatiddwa e Nateete ku lukungaana Lwa BOBI WINE nga bano baasibiddwa Nateete.
Waliwo ne pikipiki ezisoba mu 50 ezaboyeddwa.