Connect with us

News

Aba Case Hospital Bamugobye Lwa Kwesimbawo Avuganye Pulezidenti Museveni

Published

on

Bya Angel Lubowa

KAMPALA

Abaddukanya eddwaliro lya Case hospital bagobye abadde omukozi wabwe , Dr Deo Lukyamuzi Kizito nga bamulanga okugyayo empapula Avuganye ku bwa Pulezidenti.

Dr Kizito yoomu ku bantu abamaze edda okugyayo empapula n’okutuukiriza ebisanyizo by’okwesimbawo okuvuganya ekifo Kya Pulezidenti kati ekirimu Gen Yoweri Museveni.

Mu bbaluwa gye baakwanze Dr Kizito kafulu mu kulongoosa bamugambye nti tebakyayinza kugenda mu maaso naye pluuvanyuma lw’okwesogga eby’obufuzi ku mutendera ogwo.

” Nga bwemwauogeddemu n’akullra eddwaliro ku by’okwesimbawo kwp, twesanze nga tetuyinza kw’eyongerayo naawe olw’ okwewala kyekubiira ” bwebatyo bwe baamuwandikidde.

Kyokka waliwo abantu abavumiridde eddwaliro nga bagamba byabadde tebyataagisa kumugoba ku mulimugwe.