Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Entalo.mu.kulonda kw’ebibiina sizakuggwa kati.
Ng’ababaka abalinze kaadi mu NUP beewera singa bibaamu obutali bwerufu ne mu NRM sibirungi.
Mutabani w’akulira akakiiko k’ebyokulonda mu NRM, Dr Tanga Odoi nga ye Collins Tanga alumye ejiiko.
Agaanye okukitiza ebyasaliddwawo akakiiko akalondoola emibuyo egyabadde mu kulonda akamyufu ka NRM akamusazizaamu.
Collins Tanga yabadde alangiriddwa kitaawe nti yeyawangudde obwa ssentebe bw’ansvubuka mu ggwanga wabula akakiiko ne kamusazaami nti yayise mu kamooli.
Bagambye nti abamu ku baabadde ab’okuvuganya baalemeseddwa, okulonda kwakyusiddwakyusiddwa enfunda eziwera okukakana nga balonze ku ssaawa 10 ez’ekiro, emivuyo mu kukabala gattako okuba nti. Collins alina emyaka 31 gwe baayise luliramunyana awedde emirimu.
Baalagidde akalulu kaddemu nga kitaawe azzeeko ebbali era abawabye naddala
Brenda Kiconco eyabadde ow’okubiri n’obululu 1355 ne bajaganya . Collins yaeangula n’obululu 1,567 .
Kati Collins agamba eby”akakiiko tabikkiriza yawangudde, yawangudde.
Ebyo biri mu NRM ate mu NUP nayo essawa yonna kyabika.
Mu.kugaba kaadi zabagenda Okuvuganya ku bwa ssentebe bwa disitulikiti n’ebibuga waabaddewo omuliro.abamu ababadde beesunga NUP bwe yabasudde era waliwo abazze ku bwanamunigina ate abalala bagenze mu bibiina nga DA ekya Mathias Mpuuga ne PFF ekya Elias Lukwago ne Dr Kizza Besigye.
Agava mu NUP galaga nti ababaka nga Medard Lubega Ssegona ( Busiro east) bandimusuula bawe omiuyimbi Mathias Walukagga abadde meeya wa Kyenger town council.
Kyokka kino bwekinakolebwa Ssegona agenda kulwana kubanga waliwo n’sbalonzi mu kitindu kino abalowooza nti Walukagga tasobola.palamenti n’oluzungulwe olw’ebitege.
Wadde Ssegona talyibwako kake naye wakiri mu palamenti abuukula.
Waliwo aba NUP abalala bangi abali ku bunkenke olw’obutamanya kiddako ku kaadi.