Connect with us

News

OMUGOBA W’ENYONYI AVUGA NG’ATAMIDDE BAMUGOBYE!

Published

on

Bya Muwandiisi Waffe

NIGERIA

Waabaddewo obunkeenke ku kisaawe ky’enyonyi e Nigeria abasabaze abasoba mu 100 bwe baasimsttuse okufiira mu nyonyi ng’ekka ku ttaka.

Entabwe yavudde ku mugoba kugisuula bubi newaba okuva ku luguudo kweyabadde erina okuddukira.

Oluvanyuma lw’embeera okukakana ng’abasabaaze bonna bawedde ku nyonyi abakulu baatandise okunoonya ekyavuddeko obuzibu.

Omu ku bakulu mu kifo kino yagambye nti beetegerezza embeera z’omugoba bagenze okulaba ng’alinga anyweddemu kwe kumutwala mu kyuma ekipima omwenge wamu.n’omuyambiwe.

Kyababuseeko okusanga nga payirooti yabadde asabudde amazzi ( omwenge) nga Yenna akyumuuka ate n’omuyambiwe nga naye anyweddeko.

Bino byabaddewo mu July w’omwaka guno.ku kisaawe ky’e Harcourt international airport mu Nigeria.

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’okunoonyereza ku bizibu eby’engeri Eno ekya Nigerian Safety Investigation Bureau (NSIB) kyagambye nti payirooti, atemera mu gy’obukulu 64 eyabadde avuga enyonyi

Boeing 737 ng’erimu abasabaze 103 yagobeddwa mbagirawo.

Omuyambiwe bakyalaba ekyomukolera ne munnabwe omuwereza ku nyonyi agambibwa nti yasangiddwamu enjaga mu mubirigwe.