Bya Angel Lubowa
KAMPALA
Kandideeti wa NUP ku bwa meeya bw’e Nakawa , omuyimbi era munywanyi wa Bobi Wine, Nubian Li ng’amanyage amatuufu ye Ali Buken eyabadde akwatiddwa bamuyimbudde.
Buken baamuyode ku Lwokubiri e Ntinda okumpi ne Kampala bwe yabadde yakafuluma ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda mu kitindu kino.
Ababaddewo nga bamukwata bagambye nti poliisi yamwetolodde nemukwata ng’ekiyenje nemussa ku kabangali ne yegyawo kyokka gye yatwaliddwa tewasoose kumanyika.
Kyokka ekiro ky’,olunaku lwelumu yagambye nti Ab’ebyokwerinda baamuvuze nebamusuula okumpi n’amakage.
Yagambye nti yabadde tategeezeddwa kysmukwasizza nti baasoose kumuvuga ne bamwetolooza ekibuga .
Yeebazizza abawagizibe okumulondoola N’abukula nti kijja kuggwa.
Kyokka waliwo ebigambibwa nti securite enoonya buli alina akakwate ku paleedi ez’efanaanyiriza ez’amaggye NUP zezze etegeka n’abalabalina ebyambalo eby’efanaanyiriza eby’,amagye.
Webayimbulidde Buken ng are banne bangi okuli Sauda Madada ne Alex Mufumbiro, n’abalala bakyali mu nkomyo.